Okukyala kw’Abagezigezi
1 Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, 2 "Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza."
11 Bwe baayingira mu nnyumba2:11 nnyumba: abasajja abagezi tebaakyalira Yesu mu kiraalo ky’ente ekiro lwe yazaalibwa. Bajja wayiseewo ebbanga, kyebaava bamusanga mu nnyumba ng’ali ne nnyina. Newaakubadde ng’ebirabo byali bisatu, tekitegeeza nti abasajja abagezi baali basatu oba nti baali bakabaka. ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu.
Okutta Abaana Abato
16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye.