Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 2

3 Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. 4 N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 5 Ne bamuddamu nti, "Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,

6 " Naawe Besirekemu ekya Yuda,

toli mutono mu balangira ba Yuda,

kubanga omufuzi aliva mu ggwe,

alifuga abantu bange Isirayiri.’ "

7 Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. 8 N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, "Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!"

Veja também