4 N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 5 Ne bamuddamu nti, "Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,
6 " ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
alifuga abantu bange Isirayiri.’ "