Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 20:20,21,24-28

Okusaba kwa Nnyina Yakobo ne Yokaana

20 Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.

21 Yesu n’amubuuza nti, "Kiki ky’oyagala?" N’addamu nti, "Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono."

24 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 25 Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, "Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi. 26 Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. 27 Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe. 28 Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.