Publicidade

Mateus 21

1 Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. 2 N’abagamba nti, "Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. 3 Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza."

4 Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,

5 "Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,

‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli

nga muwombeefu,

nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ "

6 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. 7 Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. 8 Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. 9 Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,

"Ozaana Omwana wa Dawudi!"

"Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama."

"Ozaana waggulu ennyo!"

10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, "Ono ye ani?"

11 Abaali mu kibiina ne baddamu nti, "Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-20_17-16-08-