10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, "Ono ye ani?"
11 Abaali mu kibiina ne baddamu nti, "Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya."
Yesu mu Yeekaalu
12 Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 N’abagamba nti, "Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’21:13 Yer 7:11"