Yesu Abuuzibwa gy’Aggya Obuyinza
23 Awo Yesu bwe yakomawo mu Yeekaalu bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali ne bamubuuza nti, "Buyinza ki obukukoza ebyo, era ani yakuwa obuyinza obwo?"
24 Yesu n’addamu nti, "Mumale okunziramu ekibuuzo kyange kino, nange ndyoke mbabuulire obuyinza bwe nkozesa bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?" Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, "Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’ 26 Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi."
27 Bwe batyo ne baddamu nti, "Tetumanyi!" Yesu kwe kubaddamu nti, "Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino."