Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 22:41-46

41 Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42 "Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?" Ne baddamu nti, "Mwana wa Dawudi."

43 Yesu kyeyava ababuuza nti, "Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,

44 " ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:

"Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo

ne mbassa wansi w’ebigere byo?" ’

45 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?" 46 Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.