Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 23:1-7

1 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, 2 "Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. 3 Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. 4 Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.

5 "Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo 23:5 bwali bubokisi obutono bwe baateekangamu ennyiriri ez’ebyawandiikibwa ne bwambala mu kyenyi oba ku mukono omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. 6 Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. 7 Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.