1 "Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. 2 Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba b’amagezi. 3 Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. 4 Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe. 5 Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.
6 "Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, ‘Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!’
7 "Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. 8 Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.’
9 "Naye bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.’
10 "Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. 11 Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, ‘Ssebo, tuggulirewo!’ 12 Naye n’abaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!’
13 "Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku."