Endiga n’Embuzi
31 "Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye. 32 Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi. 33 Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.
34 "Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.
40 "Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’
41 "Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be.
46 "Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo."