27 Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna. 28 Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu, 29 ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, "Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!" 30 Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe. 31 Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.
Publicidade