Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 27:3-7

3 Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, n’azzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya, 4 ng’agamba nti, "Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango." Naye ne bamuddamu nti, "kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo."

5 Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza n’aziyiwa mu Yeekaalu n’afuluma n’agenda yeetuga! 6 Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, "Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi." 7 Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo eky’okuziikangamu abagwira.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.