Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 27:45,46,50-54

Okufa kwa Yesu

45 Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza. 46 Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, "Eri, Eri lama sabakusaani," ekitegeeza nti, "Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?"

50 Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.

51 Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika. 52 Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira, 53 era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.

54 Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, "Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.