Abakuumi ku Ntaana
62 Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato, 63 ne bamugamba nti, "Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’ 64 Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka."
65 Piraato n’abaddamu nti, "Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume." 66 Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.