Yesu Azuukira
1 Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
2 Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako. 3 Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. 4 Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.
5 Awo malayika n’agamba abakazi nti, "Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, 6 wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. 7 Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako."
8 Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be.