11 "Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro.
Okubatizibwa kwa Yesu
13 Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. 14 Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, "Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?"
15 Yesu n’amuddamu nti, "Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna." Awo Yokaana n’amukkiriza.
16 Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 17 Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, "Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo."