Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 4

Okukemebwa kwa Yesu

1 Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. 2 N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. 3 Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, "Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere."

4 Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti: Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ "

5 Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. 6 N’amugamba nti,

"Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi

kubanga kyawandiikibwa nti, Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe

oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ "

7 Yesu n’addamu Setaani nti, "Kyawandiikibwa nti, Tokemanga Mukama Katonda wo.’ "

8 Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, 9 n’amugamba nti, "Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza."

10 Yesu n’addamu nti, "Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ "

11 Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.

Veja também