Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 4:1-4,7,10,11

Okukemebwa kwa Yesu

1 Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. 2 N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. 3 Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, "Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere."

4 Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ "

7 Yesu n’addamu Setaani nti, "Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ "

10 Yesu n’addamu nti, "Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ "

11 Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.