Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka
18 Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 Awo Yesu, n’abagamba nti, "Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu." 20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21 Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.