3 "Balina omukisa abaavu mu mwoyo,
kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.
4 Balina omukisa abali mu nnaku,
kubanga abo balisanyusibwa.
5 Balina omukisa abeetoowaze,
kubanga abo balisikira ensi.
6 Balina omukisa abalumwa enjala olw’obutuukirivu
kubanga abo balikkusibwa.
7 Balina omukisa ab’ekisa,
kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8 Balina omukisa abalina omutima omulongoofu,
kubanga abo baliraba Katonda.
9 Balina omukisa abatabaganya,
kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10 Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu,
kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe."
11 "Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. 12 Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi ab’edda bwe baayigganyizibwa bwe batyo."