28 Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. 29 Ne bawowoggana nnyo nti, "Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?"
30 Walako ne we baali waaliwo eggana ly’embizzi8:30 eggana ly’embizzi Bannamawanga bangi abaabeeranga mu Ggaliraaya kyewaava wabeerayo embizzi nnyingi. Abayudaaya tebaalundanga mbizzi kubanga gye bali, kisolo ekitali kirongoofu. nga zirya, 31 baddayimooni ne basaba Yesu nti, "Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana ly’embizzi."
32 Yesu n’agamba baddayimooni nti, "Kale, mugende." Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. 33 Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, n’eby’abasajja abaaliko baddayimooni. 34 Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.