Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 8

Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi

5 Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, n’ajja n’amwegayirira, 6 ng’agamba nti, "Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ng’akoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo."

7 Yesu n’amuddamu nti, "Nnajja ne mmuwonya."

8 Omukulu w’ekitongole n’agamba Yesu nti, "Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona! 9 Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, Genda,agenda, n’omulala nti, Jjangu,era ajja, n’omuddu wange nti, Kola kino,akikola."

10 Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, "Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! 11 Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 12 Naye abaana b’obwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji."

13 Awo Yesu n’agamba omukulu w’ekitongole Omuruumi nti, "Ggenda. Nga bw’okkirizza kikukolerwe." Omulenzi we n’awonerawo mu kiseera ekyo.

Veja também