18 Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, "Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka." 19 Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, 20 omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye. 21 Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, "Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona."
22 Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, "Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo." Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.
23 Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde, 24 n’agamba nti, "Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi." Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. 25 Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala. 26 Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.