Okuyitibwa kwa Matayo
9 Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, "Ngoberera." Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu.
10 Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku mmere mu nnyumba ya Matayo, abawooza bangi n’abantu abaali bamanyiddwa mu kitundu ekyo nti babi ne bajja ne batuula naye n’abayigirizwa be ku mmere ne balya. 11 Naye Abafalisaayo bwe baakiraba, ne bagamba abayigirizwa be nti, "Lwaki Mukama wammwe alya n’abawooza n’abantu abalina ebibi?"
12 Yesu bwe yawulira n’abaddamu nti, "Abalamu tebeetaaga musawo wabula abalwadde. 13 Mugende muyige amakulu g’Ekyawandiikibwa kino nti, ‘Ssaddaaka zammwe n’ebirabo byammwe si bye neetaaga, wabula neetaaga mubeerenga ba kisa.’ Najjirira kuyita boonoonyi, so sajjirira abo abeerowooza nti batuukirivu."