4 Kabaka n’ambuuza nti, "Kiki ky’oyagala?" Awo ne nsaba eri Katonda w’eggulu, 5 n’oluvannyuma ne nziramu kabaka nti, "Kabaka bw’anasiima, era omuddu wo bw’anaalaba ekisa mu maaso go, ansindike ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange gye baaziikibwa, nkiddaabirize."