Pular para o conteúdo
Publicidade

Nekkemiya 6:2-4,6,8,9

2 Sanubalaati ne Gesemu ne bampeereza obubaka nti, "Jjangu tusisinkane mu kyalo ekimu eky’omu lusenyi lwa Ono."

Naye ekigendererwa kyabwe kyali kundeetako kabi. 3 Kyennava mbatumira ababaka okubategeeza nti, "Nnina omulimu munene, siisobole kuserengeta gye muli. Lwaki ndeka omulimu ne nzija okubasisinkana?" 4 Ne baweereza obubaka bwe bumu emirundi ena, buli mulundi ne mbaddangamu mu ngeri y’emu.

6 ng’erimu ebigambo bino nti,

"Tuwulidde mu mawanga, era ne Gesemu akirinako obukakafu, nga ggwe n’Abayudaaya, mweteeseteese okujeema era kyemuvudde muzimba bbugwe, era n’olugambo luyitayita nga ggwe olina enteekateeka ey’okufuuka kabaka waabwe.

8 Ne muweereza obubaka nga ŋŋamba nti, "Tewabanga kigambo bwe kityo ku byoyogedde; ogunja bigunje okuva mu mutima gwo."

9 Bonna baali bagezaako okututiisatiisa, nga balowooza nti, "Emikono gyabwe girinafuwa omulimu ne gulema okuggwa." Naye ne nsaba nti, "Ayi Katonda, nyweza emikono gyaffe."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.