Pular para o conteúdo
Publicidade

Nekkemiya 8:1-3,8,9

1 abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.

2 Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu, Ezera kabona n’aleeta Ekitabo ky’Amateeka mu maaso g’ekibiina ekyalimu abasajja n’abakazi n’abalala abaali basobola okutegeera. 3 N’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.

8 Ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.

9 Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, "Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.