Pular para o conteúdo
Publicidade

Nekkemiya 8:8-12

8 Ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.

9 Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, "Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba."

10 Nekkemiya n’abagamba nti, "Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe."

11 Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna, nga boogera nti, "Mubeere bakkakkamu kubanga leero lunaku lutukuvu. Temunakuwala."

12 Oluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu g’ebigambo ebyabategeezebwa.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.