Publicidade

Números 10

Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu

33 Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.

35 Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,

"Golokoka, Ayi Mukama!

Abalabe bo basaasaane;

amaggye agakulwanyisa gakudduke."

36 Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,

"Komawo, Ayi Mukama,

eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-