Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubala 12:1-3,8

Miryamu ne Alooni Bawakanya Musa

1 Awo Miryamu ne Alooni ne boogera nga bawakanya Musa olw’omukazi Omukuusi gwe yali awasizza, kubanga yali awasizza Mukuusi. 2 Ne bagamba nti, "Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?" Mukama Katonda n’abiwulira.

3 Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi.

8 Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso,

njogera butereevu so si mu ngero;

alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda.

Kale, lwaki temwatidde

okuwakanya omuddu wange Musa?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.