6 n’abagamba nti, "Muwulirize ebigambo byange:
"Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda,
nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba
njogera naye mu birooto.
7 Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa;
mu nju yange yonna, muntu mwesigwa.
8 Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso,
njogera butereevu so si mu ngero;
alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda.
Kale, lwaki temwatidde
okuwakanya omuddu wange Musa?"