Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubala 13:27,28,30-33

27 Ne bategeeza Musa nti, "Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu. 28 Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki.

30 Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, "Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula."

31 Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, "Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi." 32 Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, "Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago. 33 Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.