Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubala 13

31 Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, "Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi." 32 Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, "Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago. 33 Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo."

Veja também