Abantu Bajeema
1 Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba n’eddoboozi ery’omwanguka. 2 Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, "Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! 3 Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?" 4 Ne boogeraganya nti, "Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri."