5 Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingirangamu, ne batimbulula eggigi ery’olutimbe ne balibikka ku Ssanduuko ey’Endagaano. 6 Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, kuno ne babikkako olugoye olwa bbululu omuka, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyayo.
15 "Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.
20 Naye Abakokasi tebaayingirenga munda kutunula ku bintu ebitukuvu, wadde n’eddakiika emu, balemenga okufa."