Pular para o conteúdo
Publicidade

Okubala 6:2,3,5,6

2 "Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti6:2 Omunazaalayiti Omuntu yasobolanga okuba Omunazaalayiti okumala ennaku amakumi asatu oba obulamu bwe bwonna. Kyalinga kya kyenneyagalire, kyokka oluusi abazadde b’omwana bebeeyamanga ku lw’abaana baabwe abato, abaana ne bafuuka Abanazaalayiti obulamu bwabwe bwonna. Obweyamo bwalimu ebintu bisatu: obutakomba ku nvinnyo wadde ekintu kyonna ekitamiiza; enviiri ze tezaasalibwangako, wadde ekirevu kye okumwebwa; teyakwatanga ku mulambo, 3 anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo.

5 "Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa. 6 Ebbanga lyonna ly’anaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri Mukama Katonda, taasembererenga muntu afudde.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.