Empeera y’Okunoonya Amagezi
1 Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2 era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3 ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.