Okulabula ku Kunywa Ekitamiiza
1 Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.
2 Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,
ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
3 Tomaliranga maanyi go ku bakazi,31:3 Abakazi aboogerwako wano be baweereza abakazi abangi ababeera mu lubiri; batabulatabula kabaka ng’akola emirimu gye
newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.
4 Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,
si kya bakabaka okunywanga omwenge,
so si kya balangira okwegombanga omwenge,
8 Yogereranga abo abatasobola kweyogerera,
otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.
9 Yogera olamulenga n’obwenkanya,
olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.