Amagezi ge gali ku Ntikko
1 Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,
era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2 Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;
temulekanga biragiro byange.
3 Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,
omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4 yanjigiriza n’aŋŋamba nti, "Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,
kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5 Funa amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.