5 Funa amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.
7 Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8 Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.