Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo
15 Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,
n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16 Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,
n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17 Leka bibeere bibyo wekka,
bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18 Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19 Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20 Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,
n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?