Publicidade

Provérbios 5

3 Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,

n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

4 naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa

era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.

5 Ebigere bye bituuka mu kufa,

ebisinde bye biraga emagombe.

6 Tafaayo ku kkubo lya bulamu,

amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

7 Kaakano, batabani bange mumpulirize,

temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.

8 Mwewalenga omukazi oyo

era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

9 si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,

n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-