Pular para o conteúdo
Publicidade

Engero 5

8 Mwewalenga omukazi oyo

era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

9 si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,

n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

10 ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,

n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.

11 Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,

ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.

12 Oligamba nti, "Nga nakyawa okulabulwa,

n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,

13 era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,

wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.

14 Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira

nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também