Pular para o conteúdo
Publicidade

Engero 9:1-6,10

Empagi z’Amagezi Omusanvu

1 Amagezi gazimbye ennyumba yaago,

gagizimbidde ku mpagi musanvu.

2 Gategese ennyama yaago ne wayini9:2 Wayini yatabulwangamu ebyakaloosa aka mooli, yeeyongere okuwoomerera. waago;

gategese ekijjulo.

3 Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere

mu bifo ebigulumivu nti,

4 "Buli atalina kutegeera akyameko wano!"

Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,

5 "Mujje mulye ku mmere yange

era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.

6 Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,

era mutambulire mu kkubo ly’okumanya."

10 "Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.