Pular para o conteúdo
Publicidade

Romanos 10

12 Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14 Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, "Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi." 16 Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, "Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?" 17 Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

Veja também