Pular para o conteúdo
Publicidade

Abaruumi 11:32-36

32 Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

33 Kale nga Katonda wa kitalo,

ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;

ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.

34 "Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?

Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?"

35 "Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,

alyoke amuddizeewo?"

36 Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.

Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.