1 Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. 2 Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. 3 Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe, 4 kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. 5 Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.
6 Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. 7 Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.