6 Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. 7 Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. 8 Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. 9 Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 10 Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 11 Kubanga Katonda tasosola mu bantu.