3 Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.
9 Kale omukisa guno, gw’abakomole bokka oba n’abatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu. 10 Kale, kwamubalirwa kutya? Ng’akomolebbwa oba nga tannakomolebwa? Nedda si ng’akomolebbwa naye nga tannakomolebwa. 11 Akabonero ke yafuna ak’okukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olw’okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja w’abo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu.
16 Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna.
20 Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda. 21 Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza,